2 Chronicles 17:14-19

14 aOkubalibwa ng’enju za bakitaabwe bwe zaali kwali bwe kuti:

Okuva mu Yuda, abaduumizi ab’ebibinja eby’olukumi (1,000) baali:
Aduna omuduumizi ow’abasajja abalwanyi emitwalo amakumi asatu (300,000),
15n’eyamuddiriranga yali Yekokanani omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri mu munaana (280,000);
16 bn’eyamuddiriranga yali Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo obwebange okuweerezanga Mukama, omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri (200,000).
17 cOkuva mu Benyamini:
Eriyada, omuserikale omuzira, eyaduumiranga abasajja ab’obusaale n’engabo emitwalo amakumi abiri (200,000),
18n’eyamuddiriranga ye yali Yekozabadi eyaduumiranga abasajja emitwalo kkumi na munaana abaali beeteeseteese okulwana (180,000).

19 dAbo be basajja abaaweerezanga kabaka, obutassaako abo abaali mu bibuga ebyaliko bbugwe n’ebigo okubuna Yuda yonna.

Copyright information for LugEEEE